Features Baibuli y’Oluganda
Eno aapu ejja kukuyamba!
Ekuwa Ekitabo Ekitukuvu mu Luganda, ku ssimu yo ku bwereere!Tukuwa Baibuli enzivuunule obulungi mu lulimi OLuganda, emu ku nnimi enkulu mu Uganda.
Aboogezi b’Oluganda abasukka mu bukadde 4 kati basobola okufuna Baibuli y’Oluganda.
Sembera eri Katonda ng’oyita mu kusoma Baibuli buli lunaku ku ssimu yo!
Baibuli erimu ekigambo kya Katonda ekitaggwaawo.
Kino kigambo kya Katonda eky’enjawulo era ekiwa amaaanyi.
Ekigambo kino kikulaga ekkubo ly’obulamu, kikuwa aw’okwewogoma ng’olina emitawaana, entanda Katonda gye yatuwa mu lugendo lw’obulamu buno.
Kati osobola okugifuna mu lulimi Oluganda, ku ssimu yo ku bwereere!Ekitabo Ekitukuvu kirimu ebitabo 39 mu Ndagaano Enkadde (Olubereberye, Okuva, Ebyabaleevi, Okubala, Ekyamateeka, Yoswa, Ekyabalamuzi, Luusi, 1 Samwiri, 2 Samwiri, 1 Bassekabaka, 2 Bassekabaka, 1 Ebyomumirembe, 2 Ebyomumirembe, Ezera, Nekkemiya, Eseza, Yobu, Zabbuli, Engero, Omubuulizi, Oluyimba lwa Sulemaani, Isaaya, Yeremiya, Okukungubaga, Ezekyeri, Danyeri, Koseya, Yoweeri, Amosi, Obadiya, Yona, Mikka, Nakumu, Kaabakuuku, Zeffaniya,Kaggayi, Zekkaliya, Malaki) n’ebitabo 27 mu Ndagaano Empya (Matayo, Makko, Lukka, Yokaana, Ebikolwa, Abaruumi, 1 Abakkolinso, 2 Abakkolinso, Abaggalatiya, Abaefeeso, Abafiripi, Abakkolosaayi, 1 Abasessaloniika, 2 Abasessaloniika, 1 Timoseewo, 2 Timoseewo, Tito, Firemooni, Abaebbulaniya, Yakobo, 1 Peetero, 2 Peetero, 1 Yokaana, 2 Yokaana, 3 Yokaana, Yuda, Okubikkulirwa)Soma Baibuli y’abaganda, mu lulimi oluyonjo era olw’omulembe.
Funa Baibuli yaffe ey’Oluganda kati kati ku ssimu yo!
Secure & Private
Your data is protected with industry-leading security protocols.
24/7 Support
Our dedicated support team is always ready to help you.
Personalization
Customize the app to match your preferences and workflow.
See the Baibuli y’Oluganda in Action
Get the App Today
Available for Android 8.0 and above